Amawulire

Omukyala asse bba

Ali Mivule

September 18th, 2014

No comments

woman kills hubby

Omukyala akkidde bba gw’alinamu abaana abana n’amukuba ekiti ku mutwe ekimusse.

Bino bibadde Buloba mu disitulikiti ye Wakiso.

Beatrice Mutesi y’akubye bba Charles Twebaze n’amutta.

Okusinziira ku batuuze mu kitundu kino, ababiri bano baludde nga balwana kyokka nga ekibatabula buli omu ayogera bibye.

Atwala poliisi ye Wakiso Norah Mpawulo atubuulidde nti omukyala ono amaze okukwatibwa nga wakuggulwaako misango ku ttemu.