Amawulire

Omukuumi akubye omuntu essasi erimugye mu budde

Omukuumi akubye omuntu essasi erimugye mu budde

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2021

No comments

Bya Magembe Ssabiiti,

Omuntu omu, abadde ateberezebwa okubeera omubbi akubiddwa amasasi agamutidewo ku kyalo Biwanga mu munisipaali ye Mubende.

Omukuumi wa kampuni y’obwananyini, ategerekese nga ye Baluku Nelson kigambibwa nti yakubye omusajja ono atanaba kutegerekeka bimukwatako.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Wamala Rachael Kawala akakasizza nga bwebakute omukuumi ono, aguddwako musango gwa butemu.