Amawulire
Omukumi eyatta omusubuzi e Naalya bamuvunanye
Bya Ruth Anderah
Omukuumi wekitongole kya Seracen Security Company agambibwa okukuba omusubuzi Arnold Ainebyona Mugisha amaasi agamusse, ku Quality supermarket e Naalya, avunaniddwa.
Moses Ongoria owemyaka 26 asomeddwa omusango gw’obutemu mu maaso g’omulamuzi we ddala erisooka mu kooti ye Kiira Joan Aciro, wabula tamukirizza kubaako kyanyega ku musango ogumusomeddwa.
Amusindise ku alaimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 26th July lwanakomezebwawo okumanya okunonyereza wekudda.
Okusinziira ku mpaapa ereteddwa mu kooti ono omusango yaguzizza, nga 9 July ku Quality supermarket e Naalya, mu Namugongo Division, mu munispaali ye Kira.