Amawulire

Omukulu w’essomero eyasiyaga abaana bamusibye mayisa

Omukulu w’essomero eyasiyaga abaana bamusibye mayisa

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omukulu wessomero mu Wakiso, waakusibwa obulamu bwe bwonna obusigadde mu kkomera.

Omulamuzi wa kooti enkulu, ewozesa emisango egya nnaggomola David Wangutusi yasalidde Didas Mpagi ekibonerezo kino.

Mpagi yasingisiddwa emisango gyokukusa abaana, nokukkira abayizi be abalenzi nabaulika ennenge.Omulmuzi agambye nti ekibonerzo kino kisaanye ekibeere ekyokuyiga eri abasomesa, abava ku buvunayizbwa bwabwe, okukabawaza abaana abazadde bebabeseigiszza.

Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunaanwa, yagaliranga abaana abalnezi mu kisulo kyabwe nakola nabo omukwano ogwekifuula nnege.

Omusango yaguzza wakati womwaka gwa 2016 ne 2019 ku ssomero lyeyali akulira.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *