Amawulire

Omukulu mu Poliisi akwatibbwa kubyékuusa ku kutemula Munnamateeka

Omukulu mu Poliisi akwatibbwa kubyékuusa ku kutemula Munnamateeka

Ivan Ssenabulya

June 12th, 2023

No comments

Bya Daily Monitor,

Omuserikale wa poliisi omukulu agombedwamu obwala n’atwalibbwa mu kaduukulu ka CMI, oluvannyuma lw’okukwatibwa ab’ebyokwerinda  ku Lwomukaaga.

Superintendent of Police Vincent Irama, omumyuka w’omuduumizi wa poliisi mu bitundu bya mambuka ga yakwatibwa oluvannyuma lw’okwekenneenya ebisosonkole by’amasasi agazuulwa mu kifo munnamateeka Ronnie Mukisa weyattibwa nga biraga nti byava mu mmundu ya poliisi.

Omutemu atategerekeka yakuba Ronnie Mukisa ow’emyaka 45 amasasi bweyali akomyewo mu makaage mu divizoni y’e Ndejje mu munisipaali y’e Makindye Ssabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso nga May 30th.

Akatambi akaakwatibwa ku nsonga eno kaalaze nti omugenzi mu kiseera ekyo eyali omukozi mu kampuni ya bannamteeka eya IBC advocates mu Kampala teyafa biwundu by’amasasi egasooka omukubwa wabula omutemu y’adda okumumaliriza n’amasasi ag’enjawulo.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga yakakasiza nti eriko abantu bana beyakutte kubyekuusa kuttemu lino