Amawulire

Omukulembeze we gwanga lya Zimbabwe ddaaki atadde entebbe

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Benjamin Jumbe

Omukulembeze we gwanga lya Zimbabwe namukadde owemyaka 93 Robert Mugabe ddaaki alekulidde, okuva mu ntebbe.

Ono okulekulira kwe kusomeddwa omukubiriza wolukiiko lwe gwanga olukulu Jacob Mudenda.

Mu bbaluwa evudde ewa Mugabe, agambye nti asazeewo bwati kyeyagalire okusobola okukyusa obukulembeze mu mirembe.

Abantu oluwulidde bino nebeyiwa ku nguudo mu kibuga ekikulu Harare, okujaganya.

Palamenti mu gwanga lya Zimbabwe akawungeezi kano, ebadde etude amamuwulire agokulekulira kwa Mugabe gyegafulumidde.

Bano babadde batudde okuwulira ekiteeso keyokumusindikiriza, wabula, ababaka kwekubategeeza nti, omukulembeze we gwanga yekubye mu mutima

Mugabe, ngabadde mu buyinza okuva mu mwaka gwa 1980, bamulanga kulagajjalira buvunyizibwa bwe, okubugonomola ku mukazi we Grace Mugabe, abalengerera ewala kyebagamba nti abadde ayagala yabeera amauddira mu bigere.

Bino byonna byadirira Mugabe okugoba eyali omumyuka we Eammerson Mnangagwa, ekyawaliriza amagye ge gwanga okumuwamba nebamusaba alekulire, wabula kyabadde akyagaanye.

Mu kusooka ba minister abawerako mu gwanga lya Zimbabwe olwaleero bazize olukiiko olwa cabinet nga bawakanye ekya Namukadde Robert Mugabe, okulukubiriza nga bagamba nti ssi yatekeddwa.

Olukiiko luno lubadde lwayitiddwa President Mugabe wabula mpaawo kigenze mu maaso, akanyizza kulinda, amaaso mu kkubo ngabateesa tebalabikako.