Amawulire

Omukozi wawaka awunikkiiza Kkooti

Omukozi wawaka awunikkiiza Kkooti

Ivan Ssenabulya

December 20th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Waliwo omukozi w’awaka awunuukirizza ababadde mu Kkooti bwakkirizza gw’okubba obukadde bw’ensimbi 25 okuva ku mukamaawe nga muwandiisi wa Court y’eby’obusuubuzi Juliet Hatanga.

Mable Nagaba alabikidde mu maaso g’omulamuzi  w’edaala erisooka ku luguudo Buganda Asuman Muhumuza.

Kati omulamuzi ataddewo olwa nga December 22 okuweerako ensalawo y’omusango.

Oluuyi oluwaabi nga lukulembeddwamu Patricia Cinhtho lutegeezezza nti omusibe ng’ali wamu n’abalala ababinyika mu nsuwa wakati w’omweexzi gw’omusanvu ne December 2022 e Kyanja mu Katumba Zone babuzaawo obukadde 25 obw’omulamuzi Juliet Hatanga.