Amawulire

Omukozi wa waka eyasobya ku mwana wa mukamaawe asindikibwa e Luzira

Omukozi wa waka eyasobya ku mwana wa mukamaawe asindikibwa e Luzira

Ivan Ssenabulya

June 23rd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omuwala Omukozi w’awaka ow’emyaka 25 asindikibwa e Luzira ku bigambibwa nti yasobya ku mwana wa bboosi ow’emyaka 4.

Omusango guno gubadde gwa kuwulirwa olwaleero kyokka ne gwongezebwayo olw’obutabaawo muwaabi wa gavumenti.

Kiiza Alice alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Isaac Muwata amusindise ku limanda okutuusa nga August 10th 2023.

Oludda oluwaabi lugamba nti Kiiza omutuuze w’e Nsasa, Kira Municipality mu district y’e Wakiso wakati wa 1st ne 12th August 2021 mu ngeri emenya amateeka yakola ekikolwa eky’okwegatta n’omuwala omuto ow’emyaka 4.

Obujulizi bulaga nti omwana yategeezezza nnyina oluvannyuma lw’omuwala okuva mu maka gaabwe.

Omwana yategeeza nnyina nti omukozi yali amukuba era n’ayingiza n’omuggo mu bitundu bye eby’ekyama.

Maama yaloopa ku poliisi omusango guno omuwala nakwatibwa.

Obujulizi era bulaga nti Kiiza bamuwa omulimo mu maka gano mu August wa 2021 n’akola okumala wiiki bbiri n’ategeeza mukama waabwe nti ayagala kuva ku mulimu era ne bamuleka nagenda.