Amawulire

Omukozi wa gavumenti ataabalibwe bumukeeredde

Omukozi wa gavumenti ataabalibwe bumukeeredde

Ivan Ssenabulya

May 15th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Omuwandiisi w’enakalakkalira mu Ministry y’eby’ensimbi Ramathan Ggoobi alabudde ng’omukozi wa gavumenti yenna anasigalira mu kubalibwa okugenda mu maaso bwagenda okujjibwa ku lukalala lwa gavumenti kwafunira omusaala.

Gyebuvuddeko, Minister w’ebyensimbi yawandiikira Ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ng’amulagira okuddamu okubala abakozi ba gavumenti bonna okusobola okufuna omuwendo omutuufu ogw’abantu abalina ebisanyizo ebituufu abasasurwa omusaala.

Kino kyagendererwamu okuzza obujja olukalala n’okukola ku bizibu by’abantu abamu abasigalira gavumenti bwetuuka okusasula abakozi baayo.

Okubala abantu kuno kusuubirwa okukomekkerera mu bwangu nga alipoota esuubirwa okwasanguzibwa mu mweezi ogw’omukaaga.

Bw’abadde y’akabalibwa n’abakozi be ku kitebe kya Minsitry y’ebyensimbi mu Kampala, Minister Goobi ategeezezza nga enkola eno bwebagikazizzako elya asigala talaama.