Amawulire

Omukenkufu Ssempebwa ayogedde ku by’ebbago ly’etteeka erizaawo ebisanja

Omukenkufu Ssempebwa ayogedde ku by’ebbago ly’etteeka erizaawo ebisanja

Ivan Ssenabulya

February 27th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Omukenkuvu Fredrick Ssempebwa, omu kubabaga ssemateeka weggwanga mu mwaka gwa 1995 ayogedde ku kukubaganya ebirowoozo okwababaka ba palamenti okugenda mu maaso ku bbago lye tteeka erya constitution amendment bill 2019.

Palamenti yatandika okukubaganya ebirowoozo ku bbago lino eryaleetebwa omubaka wa Ndorwa East mu plamenti Wilfred Nuwagaba, nga lirubirira okuzaawo ekkomo ku bisanja omukulembeze weggwanga byafuga nokulinyisa emyaka gya bakulembeze gye bamala mu ntebbe okuva ku 5-7

Wabula Prof Ssempebwa agamba nti baliko bye bateesa mu kakiiko kabwe naye nebitatwalibwa ngekikulu ekivirideko okusika omuguwa okugenda mu maaso

Mu bbago lino omubaka Nuwagaba ayagala pulezidenti afugenga ebisanja bibiri byokka  awummule.