Amawulire

Omukazi wólubuto afiiridde ewa Mulerwa

Omukazi wólubuto afiiridde ewa Mulerwa

Ivan Ssenabulya

January 16th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omusajja mu disitulikiti y’e Kamuli ali mu maziga oluvannyuma lw’okufa kwa mukyala we eyawalirizibwa okuzaala nga talina bissa bisindika omwana.

Godfrey Teki omutuuze ku kyalo Buwula A mugombolola ye Bugulumbya agamba nti mukyala we Fatuma Kafuuko yagenze ew’omusawo omuzaalisa owokukyalo okukebera olubuto lwe olwe myezi 8 ne bamutegeeza nti omwana yafiiridde munda.

Oluvanyuma omukyala yakakibwa okusindika omwana awatali kumutekako ccupa za bissa

Bba womukyala yatemezebwako abatuuze era olwatuuse ewomusawo yasanze mukyalawe agangalamye mu kitaba kyomusaayi nga neyamukozeko yadduse dda.