Amawulire
Omukazi eyakuba omwana bamusibye emyaka 2
Bya Gertrude Mutyaba
Kooti ento e Masaka esindise Patience Wimana ow’emyaka 23 mu kkomera yeebakeyo emyaka 2 ku misango gy’okutulugunya omwana we ow’emyaka 5.
Omulamuzi wa kooti e Masaka Christine Nantege asingisizza Wimana omusango gw’okutulugunya mutabani we Alvin Ssebandeke oluvannyuma lw’okukkiriza omusango guno.
Omuvunanwa mutuuze ku kyalo Byuma mu gombolola ye Kyazanga mu district ye Lwengo, kigambibwa nti omusango yaguzza nga 8 ogwokubiri 2021, ngono okukwatibwa kyadirirr akatambi akasasana.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Natal Angwadya lutegeezezza kooti nga Wimana tateekeddwa kubeera mu bantu olw’ekikolwa ebikanga.
Wabula omulamuzi ategeezezza nti Wimana asaanidde okubeera eky’okulabirako eri abantu olw’ekikolwa eky’obutemu kyeyakola omwana we gweyeezaalira.