Amawulire

Omukazi e Masaka atuzze omwanawe n’amutta

Omukazi e Masaka atuzze omwanawe n’amutta

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2023

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Poliisi e Masaka etandise okunonyereza ku maama eyasse mutabaniwe owemyaka 2 ate naye nayagala okwetuga avve munsi.

Omwana eyattibwa ategerekese nga Jonathan Okendi, ate maama ye Rehema Tebasuula,owemyaka 30 nga mutuuze Kabaale-Kisoso in Kimaanya-Kabonera division mu kibuga  Masaka.

Kigambibwa nti nga May 21, muwala wómukyala ono omukulu owemyaka 13 yamusaba amutwale ewa kitaawe mu bitundu bye Acholi gyaba atandika okusomera ekyannyiza maama.

Maama yasalawo kukyata jjambiya ate muwalewe wabula nadduka awa nagenda asula ewa jjaajaawe.

Kati poliisi etebereza nti obusungu yabutadde ku katabanike akemyaka 2 nakatugga.

Bbo abatuuze bagamba nti Tebasuula abadde mutuuze mulungi yadde nga tamanyi Luganda abadde akolagana nabo bulungi ekiraga nti abadde ategeera bulungi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu ekya masekati Twaha Kasirye, akakasiza amawulire gano nagamba nti okunonyereza kukyagenda mu maaso.