Amawulire

Omukazi e Jinja atuze omwanawe owemyaka 6

Omukazi e Jinja atuze omwanawe owemyaka 6

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abatuuze mu disitulikiti yé Jinja baguddemu ekyekango omukazi bwakidde omwanawe owemyaka 6 namutuga okutuusa lwafudde lwa kitaawe wómwana okugaana kumuwa buyambi.

Omukazi ono atayasanguziddwa mAanya mutuuze ku kyalo Nkalange olwalaze okutuga omwana kigambibwa nti omulambo yaguziise mu ssamba ye bikajjo.

Ssentebe wekyalo kino Paul Balikunya, agamba maama ono ow’enzaalo esatu olwamaze okutuga omwana nategeeza abatuuze nga bweyabbiddwako omwana abantu abetanategerekeka.

Abatuuze baasambye ensiko nga mpaawo kyebazuula wabula olwakazizza enyo omukazi ono natgeeza nga bweyamutuze nga embeera emulemeredde sso nga kitaawe taweereza buyambi.

omukwate ono agamba enteekateeka ye yabadde yakutuga abaana bonna abasatu oluvanyuma naye yette.

Omukyala ono kati atemeza mabega wa mitayiibwa