Amawulire

Omukazi e Bugiri asse omwanawe asobole okugenda e Kampala akole obwayaaya

Omukazi e Bugiri asse omwanawe asobole okugenda e Kampala akole obwayaaya

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omukazi mu disitulikiti y’e Bugiri asimattuse okuttibwa abatuuze ku kyalo Makoma mugombolola ye Bulidha oluvanyuma lwokutta omwanawe owa wiiki 2 asobole okujja e Kampala akole obwayaaya.

Omumyuka wa ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, Denis Okecho agambye nti omutemu ono yakwatiddwa ng’asuula omulambo gw’omwana mu kaabuyonjo.

Okecho agamba nti bwe bakunyiza maama ono, abategezeza nga bweyafunye omulimu gw’omukozi w’awaka mu Kampala kyokka nga talina muntu gw’ayinza kulekera omwana kwekusalawo okumutta.

Ono abatuuze ababadde abakaawu bamukakanyeko ne bamukuba mizibu era poliisi yemutaasiza.