Amawulire

Omukazi atubidde n’omwana atalina bitundu byakyama

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Waliwo omukazi atubidde n’omwana eyazalibwa nga talina bitundu byakyama newafulumira.

Resty Nakawuka omutuuze we Lusanja mu gombolola ye Katikamu mu disitulikiti ye Luweero kati atunda mazzi asobole okuweza obukadde 2 okulongoosa omwana we.

Mu kusooka abaddenga ekidomola ekitunda nnusu 300 wabula abantu bavuddeyo okumuwagira, buli kidomola bakimugulako emitwalo 5 mu 2000.

Nakawukas agambye nti omwana ono awezezza emyaka 3 era agamba nti muwala.

Nakawuka agambye nti byatandika omwana we weyazimba olubuto nga tafuluma kwekumutwala mu ddwaliro ekkulu e Mulago nebamulongoosa natandika okufulumira ku lubuto.

Wabula agambye nti abasawo baamugamba nti ajja kwetaaga okulongosebwa omulundi ogwokubiri.