Amawulire

Omukazi asudde omwanawe mu Kaabuyonjo lwakutankana kitaawe

Omukazi asudde omwanawe mu Kaabuyonjo lwakutankana kitaawe

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ensisi ebutikidde abatuuze ku kyalo Kibibi mu Jinja north Division omwana eyaakazaalibwa bwasuuliddwa mu kaabuyonjo.

Ssentebe wa LC2 mu kitundu kino Sula Muyita ategeezezza nti abatuuze baamukubidde essimu mu kiro bwe baawulidde omwana ng’akaaba wansi mu kaabuyonjo.

Muyita agamba nti abatuuze beekozeemu omulimo ne bamenya kaabuyonjo okuggyayo omwana.

Kigambibwa nti nnyina womwana yasazeewo okumusuula mu kabuyonjo olwokutakana taatawe omutuufu.

Wabula Maama wómwa ategerekeseeko elya Priscilla, bwabuuziddwa ekyamubagudde okusuula omwana mu tooyi agambye nti ye teyategedde nti azadde omwana kuba yabadde agenze kweyamba nawulira ekintu egyamuvuddemu noluvanyuma kwekuwulira emiranga gyómwana mu tooyi.