Amawulire

Omukazi asse kitaawe lwakubba mwanyi ze

Omukazi asse kitaawe lwakubba mwanyi ze

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu disitulikiti ye Sironko ebakanye nomuyiggo ku mukazi nakamapaate, ow’emyaka 40 agambibwa okutemateema kitaawe namutta.

Nabukwasi Betty kigambibwa nti yasse kitaawe oluvanyuma lwokumusanga mu musiri gwe ogwemwanyi, nganoga.

Bino byabadde ku kyalo Bukaalu mu gombolola ye Buwansi, e Sironko.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika, agambye nti omugenzi ye Richard Madanda ngabadde aweza emyaka 70.