Amawulire

Omukazi asse bbaawe lwakudda ngatamidde
Bya Juliet Nalwooga
Poliisis e Namayingo eriko omukazi nakampaate gwegalidde, nga kigambibwa nti yatemyetemye bbaawe namutta.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi agambye nti omukwate ye Betty Ajwoki owemyaka 37 nga yasse bbaawe ngamulanga okudda awaka ekikerezi.
Omugenzi ye Edward Mangeni, na yakomyewo matumbi ngatamidde ekyatakudde olutalo.
Bino byabadde ku kyalo Lolwe West mu gombolola ye Lolwe e Namayingo.
Poliisi etegezezza ngokunonyereza bwekutandise.