Amawulire
Omukazi alumbye palamenti n’alumiriza poliisi okutta omwana we
Bya Damalie Mukhaye
Wabaddewo akajagalalo mu palamenti, omukazi Hajala Nakitto, bwazze okubanja obwenkanya olwa mutabani owe, owemyaka 15 Amos Ssegawa, eyakubwa maasasi mu Novemba wa 2020.
Kati ono alayidde, nti agenda kugumba ku palamenti okutuusa nga bafunye obwenkanya.
Ssegawa yafiira mu bwegugungo, obwali buwakanya okukwatibwa kwa Bobi Wine mu biseera bya kampeyini.
Kati omukyala ono agamba nti ayagala kulaba sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga.
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni, yali yasubiza okuliyirira abantu bonna, abakosebwa mu bwegugungo buno.
Wabula yategeeza nti kino kyakukolebwa ku bantu abakubwa amasasi mu butanwa, nga baali tebekalakaasa.