Amawulire

Omukazi ajeemu olubuto, omwana namusuula mu mwala

Omukazi ajeemu olubuto, omwana namusuula mu mwala

Ivan Ssenabulya

November 11th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Mukono ebakanye n’omuyiggo ku mukyala agambibwa okujjamu olubuto, omwana yebadde awezezza emyezi nga 8 namusuula mu mwala.

Omwana ono, yabadde wabulenzi nga yamujeeyo nga mulamu, kigambobwa namutuga namutta.

Omusaayi gwasangiddwa nga gukulukuta okuva mu muzigo mwabadde asula, okugenda mu mwala wasangiddwa omulambo gwomwana.

Omunonyereza wa poliisi okuva ku poliisi ye Wantoni, Lillian Nakya atubuulidde nti batandise omuyiggo ku mukazi ategerekeseeko erya Nalongo.

Poliisi ekutte abantu 4 okuli ne Land-Lord ne mukyala we, ku nnyumba omukazi ono wabadde asula, nga kigambibwa nti baatolosezza omukazi ono okuyita emmanju nadduka.

Abatuuze bavumiridde ekikolwa kino, ekyobutemu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *