Amawulire

Omukazi agambibwa okutta bba akwatibwa

Omukazi agambibwa okutta bba akwatibwa

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2022

No comments

Bya Charity Akullo,

Poliisi mu disitulikiti y’e Oyam ekutte omukazi ow’emyaka 56 ku bigambibwa nti yatta bba.

Margret Apio nga mutuuze ku kyalo faamu, mu kigo ky’e Kulakula mu disitulikiti y’e Oyam yakwatiddwa nga kigambibwa nti yatta bba Alfred Odoch.

Kigambibwa nti nga October, 9, 2022, omugenzi wamu ne mukyala we baagenda ku kyalo Te-opoko, okujaguza ameefuga mu kunywa omwenge baafuna obutakkaanya ne bufuuka olutalo ekyavirako omukazi okutta bba

Jimmy Patrick Okema, omwogezi wa poliisi mu North Kyoga Regional akakasizza obutemu buno n’agattako nti okunoonyereza ku nsonga eno kukyagenda mu maaso.