Amawulire

Omukazi afiridde nsozi e Sironko

Omukazi afiridde nsozi e Sironko

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi mu disitulikiti ye Sironko etandise okunonyereza kun fa yomukadde owemyaka 68, omulambo gwe ogwasangiddwa okumpi nomugga Naluki mu gombolola ye Busulani.

Omugenzi ye Naboso Florence, ngabadde mutuuze we Kasheru mu gombolola ye Zesui e Sironko.

Kitegezeddwa ngono bweyava awaka nagenda okulambula ku kizibwe we, e Busulani era abadde yabula.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon, Rogers Taitika agambye nti omugenzi alabika yasirittuka nagwa okuva waggulu mu nsozi.

Poliisi etegezezza ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *