Amawulire

Omukama Oyo asumattuse akabenje

Ali Mivule

July 21st, 2014

No comments

King oyo 2

Omukama wa tooro asimatuse akabenje mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero oluvanyuma lw’emmotoka y’abakuumi be 2 okwevulungula enfunda eziwera, 2 nebafa.

Akabenje kano kaabadde ku luguudo oluva e Mitiyna okudda e Mubende nga dereeva w’emmotoka yabadde agezaako kutaasa bagoba ba bodaboda ababadde batomeraganye nga bagudde mu kkubo.

bbo Ab’obuyinja mu bukama bwe Tooro bagumizza bannayuganda bonna nti omukama talina mutawaana gwonna era yeeyagala

Katikkiro wa Tooro Steven Kaliba agamba nti Omukama teyafunye buzibu bwonna ng’abakuumi be bokka beebabadde mu kabenje kano.

Ku bafudde kwekwabadde n’abajaasi ba UPDF babiri n’omuntu wa bulijjo omu.

Abalala basumattuse n’ebisago ebyamaanyi era nga bali ku bitanda ku case clinic.