Amawulire

Omukago gwa IPOD baanukudde NUP abagaanye okubegattako

Omukago gwa IPOD baanukudde NUP abagaanye okubegattako

Ivan Ssenabulya

September 10th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Egwandisizo lyomukago gwa Inter-Party Organization for Dialogue (IPOD) bongedde okulaga obumalirivu, okuteseganya nebibiina byobufuzi ku nteseganya ezetagisa, kulwobulungi bwabanaUganda.

Mu kiwandiiko ekivudde ewa ssabawandiisi wa IPOD Frank Rusa, bewaddeyo okukolagana nebibiina byobufuzi nokuzimba enfuga eya democrasiya mu gwanga.

Mu kiwandiiko kino, abadde ayanukula abakulembera oludda oluvuganya gavumenti mu palamentoi, aba National Unity Parliament abasazeewo obutegatta ku IPOD nga bagamba nti omukago tebagulabamu makulu.

Babanenya okulemererwa okuteeka gavumenti ya NRM ku nninga, mu nsonga z’eddembe ly’obuntu, democrasiya nebiralala ebibadde bitatambula bulungi.

Rusa agambye nti endagaano kwebatambulira eya IPOD MoU egenda kugwako mu Decemba wa 2021 era baakuteesa kungeri yokuyingizaamu ba memba abappya.

Mu kiseera ebibiina bi memba bya IPOD kuliko DP, FDC, JEEMA, NRM ne UPC, nga NUP naba People Progressive Party (PPP) byebibiina ebipya ebyakayingira palamenti.

Omukago gwatondebwawo mu 2010, okugatta ebibiina byobufuzi ebirina ababaka mu palamenti.