Amawulire

Omukago gwa Bulaaya bazeemu okubanja obwenkanya eri abafiira mu kwekalakaasa kwa Novemba 2020

Omukago gwa Bulaaya bazeemu okubanja obwenkanya eri abafiira mu kwekalakaasa kwa Novemba 2020

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukago gwa Bulaaya batadde gavumenti ya Uganda ku nninga, okukola okunonyereza okwanamaddala ku bikolwa byonna ebityoboola eddembe lyobuntu, ebibaddewo okuva mu Novemba wa 2020.

Zaali ennaku zomwezi 18 nenkeera waalwo nga 19, mu kegugungo ka Bobi Wine abantu 54 nebattibwa.

Kino era kyagobererwa nokubuzibwawo kwabantu mu bitundu ebyenjawulo, abagambibwa nti abasinga baali baaludda oluvuganya.

Mu kiwandiiko ba memba bomukago gwa EU mu Uganda, kyebafulumizza bavumiridde ebikolwa ebibaddewo mu bbanga lino, okuli okubuzibwawo kwabantu, okutulugunya, nebirala ku bavuganya gavumenti.

Bagambye nti bino tebikoma kumenya amateeka gegwanga naye namateeka ku mutendera gwensi yonna, era battukizza okubanja obwenkanya eri abantu bonna abakoseddwa.

Bagala ababiri emabega bakwatibwe okuvunanibwa.