Amawulire

Omukadde bamwokedde mu nnyumba Entebbe

Omukadde bamwokedde mu nnyumba Entebbe

Ivan Ssenabulya

January 29th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi Entebbe ku butemu obukoleddwa ku namukadde Margaret Nyakuni Onzia ow’emyaka 66, enyumba ye bwebagitekedde omuliro nafiramu.

Omugenzi yabadde amyuka akulira Uganda Nurses and Midwife Council, olukiiko olugatta abasawo ku mutendera ogwo mu Kampala.

Abadde mutuuze we Bugonga mu munisipaali ye Entebbe, mu disitulikiti ye Wakiso.

Okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire, agambye nti poliisi yabazinyamwoto yayitiddwa okuzikiriza omuliro ogubadde ku kyalo Bugonga, wabula bazudde nti balabika bamwokeredde.

Poliisi ekutte mutabani womugenzi Edward Bua owemyaka 38, nga kigambibwa nti yagalidde nnyina mu nnyumba, nagikumako omuliro.

Bino byonna bibaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero, ng’omukwate akumibwa ku poliisi y’Entebbe gwomulambo gutwalidwa mu gwanika e Mulago.