Amawulire
Omukadde asse ow’emyaka 13 naye nebamutta
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Ntungamo ezudde omulambo gwomwana owemyaka 13 Ayebazibwe Shafat, omuizi ku ssomero lya Kamunyiga P/S, eyabula nga 28th omwezi ku nkomerero y’oguwedde.
Omulambo gomwama ono gulabiddwa abaan ababadde bagenze mu kisanyi kye Kamunyiga okuvuba, nebamutegeera.
Wkati poliisi bwebadde etuuse webajje omulambo guno bawulidde nti abatuuze balumbye amaka gomkadde Patrick Beinobwengye owemyaka 50 nga bamulmiriza, okubeera embage w’obutemu buno.
Ono bamukubye emiggo era nebamuddusa mu ddwaliro lye Itojo, wabula gyafiridde oluvanyuma lwebiwundu ebibadde bimutusiddwako.