Amawulire

Omugoba wa Bodaboda attibbwa mu bukambwe e Kaliro

Omugoba wa Bodaboda attibbwa mu bukambwe e Kaliro

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omugoba wa bodaboda mu disitulikiti ye Kaliro attibbwa abantu abatanategerekeka, ne bakuuliita ne pikiye.

Omugenzi ye Sadat Wako abadde akuvugira ku siteegi ya Bakuseka majja mu Kaliro Town Council nga mutuuze ku kyalo Nabitende.

Ssentebe wa siteegi eno, Moses Bazimbe, agambye nti omulambo gwa Wako gusangibwa ku kibangirizi kya Kaliro freedom square.

Omulambo gwe gusangibwako ebiwundu ku mutwe.