Amawulire

Omugga Katonga gubooze, eby’entambula okuva e Kampala okugenda e Masaka bisanyaladde

Omugga Katonga gubooze, eby’entambula okuva e Kampala okugenda e Masaka bisanyaladde

Ivan Ssenabulya

May 11th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Eby’entambula ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka bisanyaladde, omugga Katonga bwegubooze olwa namutikwa w’enkuba afudemba mu kitundu ekyo ne mu bitundu by’eggwanga ebilala.

Poliisi efulumizzaawo n’ekiwandiiko ekilabula abakozesa oluguudo olwo nga n’abebidduka mwobatwalidde okukozesa amakubo amalala agasobola okubatuusa gyebalaga.

Poliisi etegeezezza nga obungi bw’amazzi bwebweyongedde nga kyongedde okuteka obulamu bw’abakozesa oluguudo olwo mu katyabaga.

Kati abava e Kampala okugenda e Masaka bawereddwa amagezi okukozesa oluguudo lw’e Mpigi okuyitira e Butambala paka sembabule nga n’abava e Masaka okujja e Kampala bwebatyo.

Namutikwa w’enkuba afudemba okwetoloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo, alese nga amakubo mangi tegakyayitikamu oluvanyuma lw’okubotoka kw’entido mu bitundu ebimu ate awala okubooga kw’amazzi.

Kino kikaluubirizza nnyo eby’entambula n’entabuza y’emilimu egitali gimu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.