Amawulire

Omugenzi Kaudha ayogeddwako Nga’badde Ayagala Abaana Na’bavubuka

Ivan Ssenabulya

July 9th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abadde omubaka omukyala owa district ye Iganga mu palalemnti, Grace Hailat Kaudh ayogeddwako ngabadde omukozi ayagala ennyo abaana nabavubuka.

Omugenzi ku myaka 30, alese omwana omu, nga yafiridde mu ddwaliro e Kawempe ku ttabi lye Mulago, oluvanyuma lwokufuna obuzibu ku lubuto lwabadde yetisse olwemyezi 5.

Kankano abakungubazi beyiye ku ssomero lya Iganga Municipal Council P/S okusabira omwoyo gwomugenzi oluvanyuma azikibwe ku ssaawa 9 nekitundu.

Kati omubaka wa Kigulu North ekisangibwa mu distrct yeemu eye Iganga, Kyakulaga Fred Bwino atubuliidde nti, Omugenzi Kaudh wakujjukirwa nnyo olwemirimu gye.

Ono ayogedde ku kuyamba abavubuka okufuna meirimu, okujanjaba abaana nebiralala.

Kati Abamu ku basubirwa mu kuziika kuliko ssabaninista we gwanga, Dr. Ruhakana Rugunda, omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga nabebitiibwa abalala njolo.

Omugenzi agenda kuzikibwa ku kyalo Magogo mu district ye Iganga.