Amawulire

Omugagga bamukunyizza okubba ettaka

Ivan Ssenabulya

March 12th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

File Photo:Catherine Bamugemereire nga yogeera

Waliwo musiga nsimbi omuyindi Mahmood Balwahan akunyiziddwa mu kakiiko akanonyereza mu mivuyo gye ttaka lwakutwala ttaka lya gavumenti mu bukyaamu.

Ettaka eryogerwaako lisangibwa ku plot 7/9 Chwa Link Lane-Mbuya eriwerako yiika 2 nekitundu nga lyamaggye  ga UPDF, saako ne lyekisaawe kya Nakasero P/S ku plot 34 A Macknon Road.

Balwahan muna  Uganda enzaarwa ya Buyindi, ye nanyini  makampuni omuli Balwahan Group Ltd, City Holdings, namalala.

Akakiiko kagudde ku biwandiiko ebiraga ngomugagga Balwahan bweyatwala ettaka lyamaggye ngayita mu kampuni ye eya City Care Holdings mu mwaka gwa  2010.

Ono bamutadde ku nninga puliida wakakiiko John Bosco Suuza anyonyole ekyamutwazisa  ettaka lyamaggye mu lukwesikweesi neyewozaako nti yaligula ku muna-Uganda omu ayitibwa Francis Kakumba.

Suuza era alummiriza omuyindi ono okwekobaana nomuggaga Ephraim Ntaganda era okwezza ettaka lyekisaawe kya Nakasero P/S, era neyelwanako.

Ono era  bamalummiriza okutwaala ettaka lyoluguudo lwegaali yommuka wali mu industrial area, nebimukalira ku matama wabula neyevuma ekyamuguza ettaka lino nga tasoose kwebuza.

Kino kigye omulamuzi Bamugemereire mu mbeera namulagira okuleeta ebyapa ku ttaka lye.