Amawulire

Omugagga akwatiddwa olw’okufera abalambuzi

Omugagga akwatiddwa olw’okufera abalambuzi

Ivan Ssenabulya

August 13th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Poliisi ye Kabale ekutte ssenkulu wa kampuni yebyobulambuzi eya Gatatu safaris Uganda Ltd, olwokufuna ssente mu lukujjukujju.

Richard Tusasibwe amanyiddwa nga Gatatu kigambibwa nti yaweebwa $ 21,500 okuva ku Dr Markus Gunter munansi wa Germany, okwaniriza family ye mu Uganda, abaali bajja okulambula.

Bano kigambibwa nti obuguzi baabukolera ku mutimbagano gwa yintaneti, era ssente zaamuweebwa mu July, wabula oluvanyuma ssente nazegaana.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Elly Matte agambye nti omusajja ono, oluvanyuma lwokufuna okwemulugunya baamulondodde era nebamukwtaira ku Lake Bunyonyi.

Agambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso, wabula kinajjukirwa nti omukulembeze we gwanga gyebuvuddeko yalagira nti bakwate abafere bonna abetobese mu kubbanga abalambuzi