Amawulire

Omugaga ssebalamu akyalemedde mu Lwera.

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Akakiiko akanonyereza ku mivuyo egiri mu ttaka kakizuude  nti omugagga John Ssebalamu abadde akyagenda mu maaso n’okusima omusenyu mu Lweera newankubadde abade yagaanibwa.

Mu mwezi gw’omunaana omwaka ogwa 2017  akakiiko kano kaagenda mu  Lweera era nekayimiriza omugagga ono okubaako kyakolera ku ttaka lino okutuusa nga kamaze okunonyereza.

Wabula ba commissioner bakakiiko bano ababbiri nga bakulembedwamu Fredrick Ruhindi n’owekitibwa Robert Sebunya bwe babadde batalaaga ebintu bya Buganda eby’enjawulo ku songa yemu ey’ettaka, kibewunyisizza  okukizuula nti Ssebalamu abadde akyagenda mu maaso n’emirimu gye.

Ssebalamu ekitongole kya NEMA kyamuwa olukusa Lwakulunda by’enyanja naye yava ku mulamwa natandika n’okusima omusenyu, era nga kati wetwogerera bwoyingira Lweera munda engenda efuuka nyanja.