Amawulire
Omubbi wembizzi awonye okuttibwa
Bya Sasat Mbogo
Ensasagge egudde mu kabuga k’e Buwama mu district y’e Mpigi, abatuuze bwebazinduukiriza gwebateeberezza okubeera omubbi w’embizzi nebamukuba mizibu.
Mawusa Kalanda omutuuze ku kyalo Teketwe mu gombolola y’e Buwama, yakiguddeko era awonye buwonyi okutibwa.
Asangiddwa n’embizzi ebalirirwamu kilo 25 nga kigambibwa nti abadde ajibbye ku mutuuze, ngasangiddwa ngajitwala kujifunamu nsimbi.
Atwala poliisi y’e Buwama Albert Natumanya ategeezezza nga bwasobodde okununula omusajja ono, ku batuuze ababadde abataamye obugo.
Kati addusiddwa mu ddwaliro e Gombe gyafunira obujjanjabi.