Amawulire

Omubbi bamutidde mu kivvulu kya Valentine ng’ankyakula

Omubbi bamutidde mu kivvulu kya Valentine ng’ankyakula

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Poliisi e Mukono etendise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku musajja, kigmbibwa abadde ayanakula ensawo namasimu gabantu mu kivvulu kya Valentine.

Bino bibaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero mu kivvulu ekibadde ku Summer Gardens e Mukono.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire akakasizza ettemu lino, wabulanga omugenzi ebimukwatako tebinaterekeka.

Agambye nti poliisi yasobodde okudukirirra nebatasaako omuntuomu, omulala afudde ngatwalibwa mu ddwaliro.