Amawulire

Omubaka Zaake talabiseeko mu kakiiko akakwasisa empisa

Omubaka Zaake talabiseeko mu kakiiko akakwasisa empisa

Ivan Ssenabulya

December 13th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omubaka wa Munisipaali y’e Mityana Francis Zaake talabiseeko eri akakiiko ka palamenti akakwasisa empisa akaweebwa omulimo gw’okumunonyerezaako ku bigambibwa nti yasiwuuka empisa mussetteserezo gyebuvudeko.

Zaake avunaanibwa okumenya amateeka ga palamenti bweyalemererwa okugoberera amateeka agafuga emitendera gya palamenti bweyaleeta ensonga za bawagizi ba NUP abazze babuzibwawo nga tafunye lukusa.

Nga akakiiko kalindiridde n’essanyu okumulaba ng’ayanukula okuyitibwa, baakubye encukwe bwe baakitegedde okuva eri omuwandiisi w’akakiiko nti yamutegeeza ng’ayita mu whatsup eyali mu Amerika ku mirimu emitongole egy’ekibiina kye ekya National Unity Platform Party.

Akakiiko akakubirizibwa Abdul Katuntu, olwaleero kafunye abajulizi nga kuliko ttiimu okuva mu palamenti Hansard ekulemberwa Moses Bwalatum ne ttiimu endala okuva mu kitongole kya poliisi ya palamenti ekikwasagana CCTV kamera nga ekulembeddwamu Steven Agaba era nga bafunye akatambi akalaga k’olutuula lwa 29th Nov.

Ekikolwa kya Zaake okubulawo nga talaze na kwetonda, kiwalirizza Kantuntu okulagira omuwandiisi w’akakiiko kano awandiikire sipiika wa palamenti okuzuula oba Zaake yasaba oluwummula olutongole bwaba teyakikola yalabe  ekiddako.