Amawulire

Omubaka Wakayima agenda kuleeta ekiteeso ku Bijambiya

Omubaka Wakayima agenda kuleeta ekiteeso ku Bijambiya

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa munisipaali ye Nansana Wakayima Musoke Nsereko ategezezza nga bwalina ekiteeso kyagenda okwanja eri palamenti ngayagala gavumenti ekirangirire nti obutemu bwebijambiya, kafuuse akatyabaga eri egwanga lyonna.

Obutemu buno bwatandikira Masaka ngeno abantu abasoba mu 30 bebatiddwa mu kabanga akatono akayise, atenga bigenze bibuna nemu bitundu byegwanga ebirala.

Mu gandaalo lya Ssabiiti waliwo obutemu era obwabadde bukoleddwa mu kifo ekimu e Nansana, wabula abatemu badduse oluvanyuma lwokukitegeera nti bakwatibwa ku camera.

Kati omubaka Wakayima, nga yoomu ku babaka abatuula ku kakiiko kebyokweringa akagumbye e Masaka agambye nti bagala okumanya ensibuko yobutemu buno era lwaki abebyokwerinda balamereddwa waddenga batwala ssente nnyingi mu mbalirira yegwanga.

Ayagala nobukiiko bwa LC1 ne 11 gavumenti obuwagire okunyweza ebyokwerinda mu bitundu.