Amawulire

Omubaka Tumwesigye ate ayagala kuvuganya ku kiffo kiralala

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2018

No comments

Bya Ssebuliba Sam

Omukubiriza wa palamenti asabayeyo akadde okwekenneya, ensonga zomubaka we ssaza lya Sheema North Dr Elioda Tumwesigye obanga anasigala ngawereza mu palament waddenga yalaze obwagazi mu kwesimbawo ate ku kiffo kyomubaka wa munispaali eye Sheema, eyakatondebwawo.

Ku Bbalaza ku ntandikwa ya wiiki eno Tumwesigye yasunsuddwa mu kamyufu kekibiina kya NRM okuvuganya, songa mu kaseera kano ye mubaka wa Sheema North.

Kati olunnaku olwe ggulo omubaka we Aruu Odonga Otto yasabye speaker okutangaaza obanga  Tumwesigye akyali mubaka obanga nebyaliko biri mu mateeka.

Wabula mu kwanukula speaker agambye nti wakusooka kwebuuza alyoke abeeko kyatangaaza.