Amawulire

Omubaka Ssewungu ku Kya’pa mu Ngalo

Ivan Ssenabulya

July 2nd, 2017

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Nampala wababaka ba palamenti abekibiina kya DP, omubaka Joseph Gonzaga Ssewungu ayambalidde bayise bannakigwanyizi abavumirira enteekateeka ya Kyapa mu ngalo egendereddwamu okukulakulanya abantu abali ku ttaka ly’obwakabaka bwa Buganda.

Ssewungu asinzidde mu kisaawe e Bbulakati e Lukaya m u district ye Kalungu nategeeza nti abantu bangi battinganye olw’enkayana z’ettaka, kalenga enkola ya kyapa mu Ngalo yandiyambako okugonjoola endoliito ze ttaka.

Abadde ayogerako eri abatuuze nasubiza nti alina entekateeka okudda okusomesa abantu ku bye ttaka.