Amawulire

Omubaka Ssewungu awakanyiza ebyobusasuza abazadde sente zámata gábayizi

Omubaka Ssewungu awakanyiza ebyobusasuza abazadde sente zámata gábayizi

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omubaka wa Kalungu west, Joseph Ssewungu asabye minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, annyonnyole palamenti ensonga lwaki abazadde babakaka okusasula amata gaweebwe abaana baabwe ku massomero.

Kino kiddiridde gavumenti okusalawo nti enteekateeka y’okuwa abayizi amata kubuwaze etandika n’’ettaamu eno mu masomero aga gavumenti ez’ebitundu 13 omuli disitulikiti okuli Mukono, Kampala ne Wakiso eranga yakubuna mu masomero okwetoloola eggwanga lyonna mu January w’omwaka ogujja.

Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, yagamba nti abazadde bagenda kusasula wakati wa shs 10, 000 ne 20, 000 buli ttaamu okulaba ng’abaana baabwe banywa ekikopo ky’amata ku Ssomero buli lunaku.

Wabula bwabadde ayogerako eri ababaka ba palamenti mu lutuula okubiriziddwa omumyuka wa sipiika, Thomas Tayebwa, Ssewungu nga omusomesa mutendeke agaanyi okukkiriza ebisale ebyabinikiddwa abazadde nga yebuuza wagye banaggya ssente ate nga bakyalwanagana ne ebisale by’amasomero ebyayongezebwa.