Amawulire

Omubaka Ssewanyana ali mumbeera mbi mu ddwaliro e Mulago

Omubaka Ssewanyana ali mumbeera mbi mu ddwaliro e Mulago

Ivan Ssenabulya

January 23rd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omubaka wa Makindye West mu lukiiko lweggwanga olukulu, Allan Ssewanyana mulwadde muyi era aweereddwa ekitanda mu ddwaaliro lya gavumenti e Mulago.

Bino bikakasiddwa omubaka wa Nakawa West mu palamenti, era nga ye mwogezi w’ekibiina kya NUP Joel Ssenyonyi.

Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Ssenyonyi agamba nti omubaka ono embeera y’obulamu bwe yeeyongedde okwonooneka era yagiddwa mu ddwaliro lya Murchison Bay mu kkomera ly’e Luzira natwalibwa e Mulago nga biwala ttaka.

Okusinziira ku Ssenyonyi, omubaka Ssewanyana alina obuzibu mu mawuggwe, tasobola kutambula wadde okuyimirira nga tawaniriddwa.

Ssenyonyi ayongerako nti ekisenge ky’eddwaliro Ssewanyana mweyateereddwa kikuumibwa nnyo ab’ebyokwerinda era bagaanye aba famile ye okuyingira na bantu balala ababadde bagenze okumulabako nga bakkirizaako Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago yekka.

Ssewanyana ng’ali wamu ne munne owa Kawempe North bamaze omwaka n’okusobyo mu kkomera ku misango egiwera omuli; ettemu, okugezaako okutta, n’okuyambako mu butujju, nga bino byona byekuusa ku butemu obwebijjambiya obwakolebwa mu bitundu greater Masaka mu 2021.