Amawulire

Omubaka Ssewanya nate waakuvuganya kukya pulezidenti wa FUFA

Omubaka Ssewanya nate waakuvuganya kukya pulezidenti wa FUFA

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana yegasse mu lwokaano, ku kifo kya Pulezidenti wa FUFA, ekibiina ekiddukany omuzannyo gwomupiira mu gwanga.

Ssewanyana akoze okulangirira kuno mu lukungana lwa banamawulire, lwatuzizza ku wofiisi ye e Makindye.

Bino webijidde nga nabadde mu kifo kino, Eng Moses Magogo yakajja alangirire, ngavuganya ku kisanja kyakusatu.

Ssewanyana mu mwaka gwa 2013, era yavuganya Magogo waddenga yawangulwa.

Ssewanyana asabye Magogo akulekulira, era najukiza banamawulire emisaago nebikolwa ebimenya amateeka, Magogo byazze yetabamiu, nganokoddeyo obufere bwa ticket za World Cup wa 2014, egyamusinga.