Amawulire

Omubaka Ssemujju Nganda yekubidde enduulu mu palamenti

Omubaka Ssemujju Nganda yekubidde enduulu mu palamenti

Ivan Ssenabulya

January 23rd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omubaka wa Kira Municipality mu Parliament Ssemuju Ibrahim Nganda yekubidde enduulu eri Parliament nga ayagala okufuna okuwaburwa ku kiki ekirina okukolebwa ku babaka ba Parliament abategekera banna magye enkiiko z’eby’obufuzi.

Kidiiridde ababaka bangi okulabwako nga batambulira ku lusegere lwa Mutabani w’omukulembeze weggwanga era omuwi w’amagezi Muhoozi Kainerugaba eyo yonna gyegenze ayita mu kutundu ekiloowoze ekya ekyakazibwako elya Muhoozi Project.

Muhoozi azze awulirwa ku mikutu gimugatta bantu nga bwekatali jirya bwajja okufuuka omukulembeze w’eggwanga ng’adda mu bigere bya Kitaawe President Museveni.

Omumyuka wa Speaker Thomas Tayebwa wabula ono amuwabudde ng’ensonga gy’abadde ayanjiza mu diiro bwetalina wekwatira ku Parliament era bwetyo nesuulibwa ettali.