Amawulire

Omubaka Robert Kyagulanyi Ayanukudde Presidenti Museveni

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses

Omubaka wa Kyadondo East omugya, Robert Kagulanyi Sentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ayanukudde omukulembeze we gwanga, Yoweri Museveni eyayogedde ku kulonda kwabwe okwali okwe bbugumu okujuza ekifo kyomubaka kino, mu palamenti.

Kyagulanyi aliko ekiwandiiko kyafulumizza ekyebigambo 2,128 mwatadde obubaka bwe ngayanukula President Museveni gwagambye nti alemereddwa okumanya ebizibu bye gwanga oluvanyuma lwemyaka 30 gyafugidde Uganda.

Kino kyadiridde ebbaluwa ya Presidenti Museveni eyafulumya nga 10 July, 2017 omwabadde ensonga eziwerako, nga kyekubiira wabamawulire mu kalulu kano, obufunda bwendowooza nebiralala, ngebimu ku byabavirako NRM okuwangulwa.

Kati ku nsonga zabamawulire, omubaka Kyagulanyi agambye nti kimanyikiddwa bulungi nti government yesinga okwogerwako nokuwndikibwako obulungi.

Kukye ndowooza zabantu, Bobi Wine ategezezza nti kikyamu nnyo, okugerageranya endowooza zabantu be nsangi zino naddala abavubuka ku ndowooza za NRM nebyo byekirizaamu.

Agambye nti era ssi kirungi okutwala ebyo NRA oba NRM byekirizaamu nti byebituufu, songa nabavubuka bandiwereddwa omukisa okuwa endowooza zaabwe.

Omubaka Kyagulanyi era ategezezza nti abakulembeze ba NRM bataddewo oluwonko nabantu bebakulembera, ekintu ekyobulabe.

Wabula Bobie Wine asoose kwebaza President Museveni olwokumuyizayoza okutuuka ku buwanguzi oluvanyuma lwokulonda okwaggwa.

Tegezezza nti kino ssi kituufu, nti yawangula wabula abantu be aba wansi bebawangula.

Wano watandikidde nayogera ku bbula lyemirimu, enguzi nobumenyi bwamateeka obweyongedde mu gwanga, abakulembeze okwesamba abantu baabwe ababalonda.

Agambye nti abantu bangi mu gwanga abatali bulungi era abawulira obubi nga naye bweyali mu mwaka gwa 1981, waddenga tebalina mundu naye ssi basanyufu.

Bino byebimu ku bigambo ebingi ebibadde mu kiwandiiko kyomubaka Robert Kyagulanyi.