Amawulire

Omubaka Nsubuga kkooti emukakasiza

Omubaka Nsubuga kkooti emukakasiza

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu Kampala ekakasiza okulondebwa kwa Paul Nsubuga ngómubaka wa busiro North mu palamenti.

Kino kidiridde omulamuzi Winfred Nabisinde okugoba omusango ogwaloopwa munne bwebavuganya Edger Lubade, eyawakanya obuwanguzi bwa Nsubuga newankubadde yeyasiba ekira mu byava mu kulonda.

Omulamuzi Nabisinde agobye omusango guno oluvanyuma lwokutegeeza nti Lubade lemereddwa okuleeta obujjulizi obulaga nti omubaka Nsubuga teyawangula kalulu mu mazima.

Ono era alumiriza nti omubaka Nsubuga talina mpapula za buyigirize nga zeyakozesa okwewandiisa tezaali zize.

Omulamuzi amulagidde okuyiririra Nsubuga ensimbi zonna zasasanyiriza mu kalulu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *