Amawulire

Omubaka Nsubuga akakasibwa Kkooti

Omubaka Nsubuga akakasibwa Kkooti

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu 3 bakaksizza okulondebwa kw’omubaka Paul Nsubuga ngomubaka wa Busiro North.

Abalamuzi babadde bakulembeddwamu amyuka Ssabalamuzi Richard Buteera nga bagobye omusango ogubadde gwawaabwa Edgar Lubadde eyajulira ngawakanya ennamula yomulamuzi wa kooti enkulu Winfred Nabisinde.

Ennamula eno esomeddwa omuwandiisi wa kooti Lillian Buchana, nga basoose kugoba okusaba okubadde kusaba obudde, okuwa oba okusavinga bannamateeka Nsubuga okujulira kwabwe.

Munna DP Edgar Lubadde ngono yeyasemba mu kulonda okwaliwo nga 14 January 2021 ngabadde agamba nti teyalina buyigirize.

Abadde alumiriza nti Nsubuga Paul, amanya ge amatuufu ye Mukalazi Peter.