Amawulire

Omubaka Mapenduzi ayogedde ku kugobwa kwa Zaake

Omubaka Mapenduzi ayogedde ku kugobwa kwa Zaake

Ivan Ssenabulya

March 15th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wessaza lya Bardege-Layibi mu palamenti Martin Ojara Mapenduzi avuddeyo okwogera ku kiteeso kyeyaleeta okujjamu omubaka munne obwesige Francis Zaake ku kifo kya kamisona wa palamenti.

Mapenduzi yaleeta ekiteeso kino nga yemulugunya ku mubaka wa munisipaali ye Mityana olwokweyisa mungeri yali tegwanidde, kigambibwa bweyakakana ku amyuka Sipiika Anita Among namuvuma n’okumuwemula.

Mapenduzi talina kibiina mweyajira, wabula yalondebwa aba National Unity Platform, okukubiriza akakiiko aka Local Government Accounts Committee akalondoola ensasanye yensimbi muzi gavumenti ezebitundu.

Agambye nti ekiteeso kino tekirina kakwate ku kibiina kya NUP naye yali yemulugunya ku nneyisa yomubaka era baakusigala nga bakolana ne NUP, kubanga yye munnankyukakyuka.

Wabaddewo abawanuuza nti yatandise enkolgana ne NRM okuyita mu kiteeso kino.