Amawulire

Omubaka Kyagulanyi Ssentamu akwatiddwa

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Poliisi eriko ababaka abamu ku abo abogobwa mu palamenti betangidde, okuyisa ekivvulu, nga babadde bolkera mu kibuga.

Ababaka bano babadde bakyaliddeko, mubaka munaabwe Robert Kyagulanya Ssentamu, owa Kyandodo East mu maka ge e Magere oluvanyuma lwebigambibwa kuba bbomu okubwatukira mu maka ge.

Wabula mu kuvaayo nomubaka Kyagulanya yennyini, babadde bayisa ekivvulu poliisi kyegaanye nebekiika.

Kakati omubaka Kyagulanya Ssentamu amanyiddwa nga Bobie Wine akwatiddwa nebamutwala mu kifo ekitanakakasibwa.

Kuno kubaddeko omubaka Ibrahim Kasozi, Muhammad Nsereko, Latif Ssebagaala nabalala.

Bino webijidde ngebbago eryokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga lisomebwa akawungeezi ka leero.

Omubaka wa Igara West Rapheal Magyezi aganeda mu maaso nokusoma ebbago lino.