Amawulire

Omubaka Kateshumbwa aweze okutwala UWA mu kooti

Omubaka Kateshumbwa aweze okutwala UWA mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2022

No comments

Bya Ndhaye Moses

Omubaka wa munisipaali ye Sheema mu palamenti Dickson Kateshumbwa yeweze okutwala ekitongole kya Uganda Wildlife Authority (UWA) mu kooti olwekisulo kye ekyabagenyi ekyakwata omuliro mu kkumiro lyebisolo erya Queen Elizabeth National Park.

Kateshumbwa okwemulugunya kuno akwanjulidde ababaka abatuula ku kakiiko akebyobulambuzi, nganenyezza gavumenti olwokulagajjalira emirimu gyobulambuzi.

Anayonyodde ababaka ku alipoota ya poliisi gyebawa ku muliro guno nabbambula, ogwakwata ebintu bye awamu 18 nebisirikka, ebibalirirrwamu obuwumbi 7 ku Park View Safari Lodge.

Bino byaliwo nga 23 July 2021 mu Queen Elizabeth National Park mu disitulikiti ye Rubirizi.

Katesumbwa akulukusizza amaziga mu maaso gababaka banne, ngagambye nti yali yakatekamu akawumbi akalala, kalamba okwongera okuteeka ekifo kino ku mutindo.

Wabula minisita webyobulambuzi Tom Butime, ebya gavumenti okumuliyirira abaigaanye, nagamba nti kijja kutekawo ebyafaayo nabalala batandikire awo okubanja okugeza KCCA ebasasaule olwa woteeri zabwe ezikwata omuliro mu Kampala.